Nahum 3

Ebibi bya Nineeve

1 aZikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!
Kyonna ekijjudde eby’obulimba
n’obunyazi,
ekitaggwaamu banyagiddwa.
2Muwulire okuvuga kw’embooko,
n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali
n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga
n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
3 bLaba eggye ery’embalaasi erirumba,
n’ebitala ebitemagana,
n’amafumu agamyansa.
Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,
ne ntuumu ennene ez’emirambo
egitamanyiddwa muwendo;
abantu bagirinnyirira.
4 cBino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,
kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,
ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,
n’olw’obulogo bwakyo.
5 d“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,
“era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.
Ensi zonna ziriraba obwereere bwo
n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
6 eNdikukanyugira kazambi,
era ndikufuula ekyenyinyalwa
ne nkufuula eky’okwelolera.
7 fAwo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,
‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’
Abalikikubagiza baliva wa?”

8 gGgwe Nineeve ggw’osinga Tebesi
ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira
ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?
Olukomera lwakyo gwali mugga
era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
9 hEsiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.
Ate nga Abapuuti
Abapuuti ne Abapuuli balabika nga baali bantu ba mu kitundu kye kimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya
n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 jKyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
11 kNineeve naawe olitamiira,
olyekweka
ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.

12 lEbigo byo byonna biri ng’emitiini
egiriko ebibala ebisooka okwengera;
bwe ginyeenyezebwa
ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
13 mLaba abalwanyi bammwe balinafuwa
ne batiitiira ng’abakazi.
Enzigi z’ensi yo
nzigule eri abalabe bo.
Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.

14 nWeenyweze bajja kukulumba!
Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.
Nyweza ebisenge byo.
Noonya ettaka olisambe
oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
15 oOmuliro gulikulya,
ekitala kirikuzikiriza.
Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.
Mweyongere obungi ng’enseenene,
mwale ng’enzige.
16Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe
okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.
Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi
ne ziryoka zibuuka.
17 pAbakuumi bammwe bali ng’enzige,
n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige
ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.
Enjuba bw’evaayo zibuuka
ne ziraga etamanyiddwa.

18 qAbasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,
n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.
Abantu bo basaasaanira ku nsozi
nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
19 rTewali kisobola kuwonya
kiwundu kyo ekinene bwe kityo.
Bonna abawulira ebikuguddeko
bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.
Ani ataakosebwa
olw’ettima lyo eringi?
Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?

Copyright information for LugEEEE